Abantu 20 bebagenda okuwebwa emidaali egibasiima omwaka guno 2026, ku mikolo egy'okujaguza amefuga ga Uganda ag'omulundi ogwe 64.

Abantu bano bebamu abakoze ebyannaggwano eri eggwanga okuva bweryafuna obwetwaze nga 09 October,1962 okuva ku bafuzi b'amatwale Abangereza.

Kuliko abambyeko eggwanga okusenvula mu nkulakulana, obutebenkevu n'okunyweeza obwetwaaze. 

Olukiiko lwaba minister lwakutuula okwogera ku mikolo gy'omwaka guno bweginaatambuzibwamu, oluvannyuma lwa president Museveni okuyisa ekiragiro nti emikolo gy'eggwanga egimu gitegekebwa okuyita ku mugimbagano, okukendeeza ensimbi ezisaasaanyizibwa ku mikolo egyo.

Hajji Yunus Kakande omuteesiteesi omukulu mu ministry y'ensonga zobwa president abuulidde CBS  nti offiisi ye yasabye omukulembeze w'eggwanga akkirize abantu 20 abagenda okuweebwa emiddaali ku lunaku olwo, beetabe butereevu ku mikolo egyo, abakwaase emiddaali egyo.#