Police mu district ye Kassanda ekutte era neggalira ssemaka ateberezebwa okutemula mukyala we ng’amuteebereza okuba ng’abaliga.

Omukwate ye Tuesday Venansio  atemera mu gy’ibukulu 41, mutuuze ku kyalo Lusaana ekisangibwa mu gombolola ye Kassanda mu District ye Kassanda.

Okusinziira ku kunoonyereza kwa police Christine Nakibeyu omugenzi yavudde ewaka ekiro  n’agenda okukyakala kyokka n’atasobola kudda waka.

Kigambibwa nti obudde nga busansaana  ku ssaawa nga kkumi n’emu  Venansio asazeewo okuwondera omukyala, era kitegerekese nti  basisinkanye mu kkubo, Venansio kwekutema Nakibeyu Christine ekiso ku mutwe, naafa ng’addusibwa mu ddwaliro.

Tuesday Venansio akwatiddwa akuumirwa mu kaduukulu ka police e Kassanda.

Ayogerera Police mu bitundu bya Wamala Rachael Kawala awanjagidde abafumbo bulijjo okufuga nga obusungu, era n’abasaba okweyambisa ab’obuyinza okugonjoola obutakkaaanya bwebaba bafunye mu maka gaabwe.

Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi