Abakulembeze b'Obukama bwa Tooro balangiride ennaku 9 ez’okukungubagira Omukama Oyo Kabamba Iguru Rukidi IV, era nga bendera zonna mu kitundu ekyo zakwewuubira mu Makati g'emirongooti
Empologoma eri ku wankaaki w’olubiri lwe Karuzika abakulembeze basazeewo ebikibweko olugoye, nga akabonero akalaga nti nti Empologoma y’olubiri olwo teriimu
Ababiito ba Tooro babikidde Tooro yonna nga basinziira ku nsozi, abantu bongere okutegeera nti Omukama yagenze.
Richard Rwabuhinga akulira olukiiko olugenda okuwerekera Omukama agambye nti Bendera zonna mu Tooro zirina okubeera mu Makati nga zeewubira awo,okutuusa nga enaku mwenda ziwedeko.
Agambye nti ensonga zonna ez'okukungubaga n'okuziika Omukama zigenda kukolebwa nga zigoberera ennono.#
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment