Omuhikirwa Calvin Armstrong Rwomiire Akiiki abise Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV, nti avudde mu bulamu bw'ensi nga 27 August,2026 ku ssaawa Nnya ez'ekiro.

Omuhikirwa asabye abantu ba Tooro okukuuma obumu mu kiseera kino eky'okusoomozebwa.

Wabula abagumizza nti Omukama Oyo alese Omubiito,agenda okusikira Engoma ya Tooro.

Agambye nti wakulagibwa eri abantu ng'ekiseera ekituufu kituuse, nga  bagoberera ennono n'obuwangwa bwa Tooro obutambulira ku nteekateeka eno.

Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru IV y'abadde Omukama wa Tooro owe 13, ng'afiiridde ku myaka 34 egy'obukulu.

Omukama Oyo aazaalibwa Omukama Patrick David Mathew Kaboyo Olimi III ne Queen Mother Best Kemigisha, nga 16 April,1992.


Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV yatuuzibwa ku Mpaango ya Tooro nga 12 September, 1995 ng'adda mu bigere bya Kitaawe eyafa ekibwatukira.


Rukirabasaija Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV y'akyasinze okufuuka Kabaka ku myaka ebito, mu byafaayo by'ensi eno, yalina emyaka 3 gyokka egy'obukulu.