China   eyongezza emyaka abakozi mu ggwanga eryo kwebalina okuwumulira ku mirimu okuva ku myaka 50 okulinnya  ku myaka   55 , okukendeeza ku nsimbi z’akasiimo ezisasulwa abawumudde ku mirimu.

Kisaliddwawo nti abakyala   bannyukire ku ,myaka 55,  ate  abasajja ababadde bannyukira ku myaka 60 kati balinnyisiddwa ku myaka  63.

China yeemu ku mawanga agalina emyaka emitono abakozi kwebawummulira okuva ku mirimu.

Okusinziira ku lupapula lwa government ya China olumanyiddwa nga Xinhua,   omukozi mu China takirizibwa  kuwuMmula mirimu  ng’emyaka agiRambikiddwa teginatuuka, okuggyako ng’omukozi alina ensonga yessimba kwasinziira okuwummula.

Omukozi era aweeebwa omukisa okweyongeza emyaka emirala 3 gyokka , okudda okukola singa abeera ayagadde oluvanyuma lw’okuweza emyaka egyesalira.

Bikungaanyiddwa: Ssebuliba Julius