Club ya Vipers eya Uganda ewanduse mu mpaka za Africa eza CAF Champions League, bwegudde amaliri ne club ya Power Dynamos eya Zambia goolo 1-1.

Omupiira guno guzanyiddwa mu kisaawe kya Levi Mwanawasa Stadium mu Ndola e Zambia.

Omugatte Vipers ewanduse ng’ekubidwa goolo 3-2.

Omupiira ogwasooka mu kisaawe kya St. Mary’s Stadium e Kitende, Power Dynamos yalumba Vipers e Kitende n’egikubirayo goolo 2-1.

Emikisa gya Vipers okugenda ku mutendera gw’ebibinja guweddewo, era bwetyo esubiddwa okufuna ensimbi emitwalo gya doola 70, mu za shilling bwe buwumbi 2 n’omusobyo ezigenda okuwebwa buli club etuuse ku mutendera gw’ebibinja.

Vipers yakazannya mu bibinja by’empaka zino omulundi gumu mu season ya 2022/25.

Ekibiina ekiddukanya omupiira ku ssemazinga Africa ekya CAF, kyakakasiza nti obululu obw’ebibinja bugenda kukwatibwa nga 03 November,2025 e Johannsburg e South Africa.

Club ya Pyramids eya Misiri ye yawangula empaka ezaasembayo.#

Bisakiddwa: Issah Kimbugwe