Abantu ba Ssaabasajja Kabaka abeetabye mu misinde egyókukuza amazaalibwage ag’emyaka 69, abaddukidde mu bitundu by’ensi ebyenjawulo, beeyanzizza nnyo Maasomoogi okusiima naakulemberamu olutalo olwókulwanyisa akawuka ka mukenenya.

Nnalinnya Lubuga Agnes Nabaloga ng’awuubira abaddusi abakungaanidde mu Lubiri e Mengo

Bano beeweze obutatiirira Nnamulondo nókussa ekitiibwa mu biragiro ebiva embuga.

Omulangira David Kintu Wasajja, Omulangira Richard Ssemakookiro n’Omumbejja Katrina Ssangalyambogo betabye ku misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka ag’emyaka 69

Emisinde gy’omwaka guno 2024 gitambulidde ku mulamwa ogw’okulwanyisa siriimu, okukubiriza abaami okukulrmberamu kaweefube on, abalina akawuka okunyiikiria okumira eddagala n’okubudaabudibwa, atabalina okwongera okwekuuma mu mbeera zonna, saako okwekebeza.

Omumyuka asooka owa Kaggo Owek Ronald Mpagi era omutandisi w’essomero Good Times Infant School – Kawaala akulembeddemu abamu ku bayizi n’abasomesa ne badduka emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egye 69

Abantu abasoba mu mitwalo 100,000 bebetabye mu misinde gino, egisimbuddwa Nnalinnya Lubuga Agnes Nabaloga, mu lubiri lwa Kabaka e Mengo, n’ebitundu ebirala byonna eby’ensi gisiimbuddwa abakungu abenjawulo.

Mu babaka Omuteregga bwatisse Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga mu kusimbula emisinde gyÁmazaalibwa mu Lubiri e Mengo, Empologoma eragidde abantu baayo okwongera okwekuuma Mukenenya, kino kiyambeko mu nkulaakulana yéggwanga.

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alambise abakola ogwÓkubudaabuda abalina akawuka ka Mukenenya bongeremu amaanyi, kiyambeko mu kuzzaawo essuubi mu bakalina nga omu ku kawefube wÓkukamegga mu mwaaka 2030.

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu mu Buganda obutakoowa kukola bizza Buganda ku Ntikko, kyokka nategeeza nti bino byonna byakutuukibwaako nga waliwo Obulamu obweyagaza.

Katikkiro mungeri yeemu atenderezza abaddusi bonna abeetabye mu misinde gy’Amazaalibwa ga Beene mu bitundu by’ensi ebyenjawulo.

Katikkiro atenderezza omuddusi asinze Obukulu Dr. Kaddu Wasswa omulwanirizi wÓbutonde ne bulungi bwansi, naasaba abeere kyakulabirako.

Abaddukidde mu South Sudan emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka agy’omwaka 2024
Abaddusi b’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka abaddukidde mu ggwanga lya Botswana
Abaddusi abasimbudde ku Matutuma mu ssaza Ssingo Mityana
Abasimbudde ku gombolola ye Butuntumula mu ssaza Bulemeezi
Abaddusi abasimbudde ku mbuga y’egombolola ya Ssaabaddu Maddu Gomba
Abaddukidde mu bizinga e Ssese

Emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka gyetabwamu abantu bonna abakadde n’abato#