Abantu 10 bakakasiddwa nti bafiiridde mu kabenje akaguddewo olwaleero nga 10 December,2025 ng’obudde bukya,  ku luguduo lwa   Bugiri – Tororo.

 

Akabenje kano kagudde mu kitundu ekimanyiddwa nga Busowa mu town council ye Busowa mu district ye Bugiri, emmotoka ekika kya taxi No. UBN 817H ebadde eva e Busia ng’egenda Iganga eremeredde omugoba neetomera lukululana No. UA 647BA ekibadde kisimbye ku luguudo.

Omwogezi wa police etwala ekitundu ekyo Mike Kasadha agambye nti abantu 10 bafiiriddewo, ate 3 baddusiddwa mu ddwaliro e Bugiri nga bali mu mbeera mbi ddala.#

Bisakiddwa: Kirabira Fred