89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM

Eyeterekera Sacco

EYETEREKERA SACCO ETUUZIZZA TTABAMIRUKA WA 2021

Minister omubeezi avunaanyizibwa ku by’obusuubuzi neby’obwegassi mu bwakabaka bwa Buganda, Owek. Hajji Hamis Kakomo akubirizza abantu ba Ssaabasajja okujumbira ebibiina by’obwegassi bwebabeera nga bakwekulaakulanya n’okweggya mu bwavu.

Owek. Kakomo abadde aggulawo ttabamiruka w’ekibiina kya CBS PEWOSA nsindiika Njake eyeeterekera cooperative society limited, ayindidde ku Teachers’ Hall mu Ndeeba.

Minister Hajji Hamis Kakomo asabye ba memba okukola emirimu egiwangaala era nga givaamu ebibala n’okweyimirizaawo.

 

Mpakibi Waiswa Robert commissioner okuva ministry y’ebyobusubuzi n’obwegassi atenderezza Obwakaba bw’a Buganda olw’o kutumbula ebibiina by’obwegassi , byagambye nti byebyaleeta enkulakulana mu Uganda eyaviirako n’okuzimba ebibuga bingi.

Alabudde ba member b’ebibiina bino n’ababiddukanya okubeera abegendereza, nga bakozesa ensimbi zebewola n’okufuba okuzikomyawo mu budde.

 

Abadde akulira olukiiko olufuzu olwa board ya CBS PEWOSA Nsindika Njake Eyeeterekera Cooperative society limited, Owek. Vicent Bbaale Mugera agambye nti baatandikawo ekitongole kino okuggya abantu ba Kabaka ne Uganda yonna mu bwavu era bekulakulanye.

Agambye nti baatandikawo n’ebibiina mu masaza agenjawulo omuli Buddu CBS PEWOSA Sacco nga Eno mu kiseera kino eweza obuwumbi 10, Kyadondo  sacco ne Busiro CBS PEWOSA sacco.

General  Manager wa CBS PEWOSA Nsindika Njake eyeeterekera Cooperative society limited Ssentumbwe Daniel Herbert, yebazizza ba member bonna olw’o kutereka.

Agambye nti ekitongole kikoze amagoba agawera obukadde 100, baterese obuwumbi 6 , emigabo giri mu 800, ba member abasoba mu mitwalo 100,000, era asuubizza nti bakwongera okusaasaana mu masaza gonna.

Ba member mu  CBS PEWOSA Nsindiika Njake batenderezza radio ya CBS FM olw’okubakumaakuma n’okubakubiriza okukola.

Mu Ttabamiruka ono ekitongole kikyusizza obukulembeze, ng’abadde sentebe w’olukiiko olufuzu olwa board Owek. Vicent Bbale Mugera akomekerezza ekisanja kye, era nga omukungu Jossy Etuusa  yamudidde mu bigere.

Mu kiseera kino ekitongole kino kirina ebibiina 447, ebitereka n’okwewola ensimbi okwekulakulanya.

 

 

Welcome Back!

Login to your account below

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Add New Playlist