
CBS PEWOSA NGO
Yatandikibwawo cbs radio neekigendererwa eky’okutuuka ku bantu ba bulijjo, okubasomesa engeri gyebasobola okukozesa ebintu ebibeetoolodde okukyusa obulamu bwabwe.
Mukusooka CBS pewosa yali esinga kutunuula bakyala okukyusa obulamu bwabwe nga bayita mu kutereka obusente obutono bwebafuna, nebewolerako endala nebabeerako emirimu gyebetandikirawo okweyimirizaawo. era muno mwemwava ekigambo PEWOSA (Project to empower women through through savings Associations)
Mu kiseera kino CBS pewosa yataggululwa neyingizibwamu abasajja. Buli kibiina kya Pewosa ekitandikibwawo, ku bantu kkumi kubeerako abasajja 3 : 7 (baami : bakyala)
Buli kibiina kya PEWOSA ekitandikibwawo kisooka kusomesebwa emiganyulo gy’okukolera awamu, okutereka ensimbi, okwewola. n’okutandikawo emirimu egisobola okukolebwa mu maka gabwe.
PROJECT Eziri mu CBS Pewosa NGO.
- Okuzimba ebibiina bya ba memba: abasobola okukolera awamu okulwanuisa obwavu n’okwekulakulanya nga bayita mu kutereka ensimbi, okwewola n’okutandikawo emirimu.
- Bonga project – Polojekiti eno egenderera okusomesa abaana abawala okubeera n’obulamu obulungi, nga basomesebwa ebikwata ku buyonjo, eby’obulamu, okulwanyisa mukenenya, okweyagalira mu nnaku zabwe eza buli mwezi menstruation management) n’ebirala.
- Community based vocational skills training project – Mu polojekiti eno, abavubuka abawala n’abalenzi abali wakati w’emyaka 18 – 25 batendekebwa emirimu gy’emikono nga basinziira mu bitundu gyebabeera, naddala abo abali mu byalo nga tebaagenda wala na kusoma.
Polojekiti eno eri mu district ye Wakiso ne Mpigi, ng’avavubuka batendekebwa mu mirimu gy’aokubajja,okukanika, okukola enviiri, okwokya ebyuma, n’ebirala nga batendekebwa okumala ebbanga lya mwaka mulamba.
Ababeera abamalirizza okutendekebwa bawebwa ebikozesebwa ng’entandikwa okwetandikirawo emirimu.
- Early Childhood care and education project – polojekiti eno egenderera okuteekateeka abaana abato abatuuse okusoma okulabirirwa obulungi. Ekwata ku baana abali wakati w’emyaka 3 – 8.Abaana abassiddwako essira bebali mu byalo, abava mu maka amaavu, abetaaga okubeerwa, abali mu nkmabi z’ababundabunda n’ebirala. Abalabirira abaana abo abasomesebwa endabirira esaanidde eri amabujje, mu by’endya, eby’obulamu n’okusoma n’okusoma okwawamu.
Amawulire agakwata ku CBS PEWOSA NGO

Radio Buganda CBS FM ezizza bujja enkolagana yaayo n’e kitongole kya Norway, ekya Norwegian Agency for Exchange Cooperation mwebayita okuwanyisiganya abavubuka abalina obukugu obwenjawulo, nabaakava mu mussomero, okutumbula embeera zabwe nébitundu gyebawangaalira.
CBS FM endagaano gyeyasooka okukola nékitongole kino yali ya myaka 5 , era mwebayita okuweereza abavubuka 2 mu Norway okufuna obukugu mu bintu ebitali bimu, omuli ebyobuwangwa, Technologiya nengeri yokulakulanyamu ebitundu gyebabeera.
Norway okuyita mu kitongole kya Norwegian Agency for Exchange Cooperation wamu ne Stromme Foundation, nabo bakuleeta abavubuka 2 okuweerereza mu kitongole kya CBS Pewosa NGO.

Abakungu okuva mu kitongole kya Norwegian Agency for Exchange Cooperation okubadde omuwi wamagezi Marit Erdal, n’omulondoozi w’e nteekateeka Oivind Armando Reinertsen basisinkanyemu senkulu wa CBS omukungu Micheal Kawooya Mwebe mu wofiisi ye ku Masengere okwongera okuttaanya ku nteekateeka eno.
Omukungu Kawooya Mwebe agambye nti enteekateeka eno ekyusizza nnyo entambuza y’e mirimu mu bitongole bya Ssaabasajja ebitali bimu, era bakwongera okugikwata obulungi bongere okujjamu ebibala.
Akulira okulondoola emirimu mu kitongole kya Norwegian Agency for Exchange Cooperation Oivind Armando Reinertsen atenderezza CBS FM olwolwenyigira mu kukyusa embeera z’a bantu.

Akulira CBS Pewosa NGO, Florence Luwedde agamba nti bakukozesa program eno okutwala ekitongole kya Cbs Pewosa NGO mu maaso, n’okusomesa abavubuka emirimu gy’omikono okwekulakulanya n’ebitundu gyebabeera.
Bakyaddeko e Nanziga ku kifo Abaana abawala webasomesebwa okutunga engoye n’okusiba enviiri.
Abaana bano Bali mu project eyitibwa ‘BONGA’
Mu nkolagana eno, ekitongole kya CBS PEWOSA kyakutumbula enkola yémirimu gyakyo nébitundu mwebakolera, nga bawanyisa obukugu ne bannabwe abava e Norway.