President Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, alagidde akulira amaka g’obwa president, Jane Barekye, okulemberemu okuliyirira family z’abayizi abafiiridde mu kabenje ka mmotoka ya Sino Truck, eyayingiride essomero lya Kasaka SS e Gomba.
Ku lwokubiri lwa sabiiti eno, mmotoka ya Sino truck nnamba UBL 790J, yalemerera omugoba waayo, Wanume Abudala owemyaka 26, neyingirira essomero lya Kasaka S.S e Kanoni mu Gomba.
Abayizi okuli Evelyn Namagembe owa S.5, Bosco Mawanda owa S.2, ne Hilda Asega owa S.4 baafirawo mbagirawo, n’omulala omu yafiira a mu ddwaliro ate abalala e 18 bakyajanjabibwa.
President Museveni asinzidde Kololo mu kwogerako eri parliament nasaba wabeewo akaseera akokusirikirira okujjukira emyoyo gyabagenzi bano, kko nabantu abasoba mu 500 abaafa ekirwadde kya Covid 19, naabo abasoba mu 50 abafa Ebola.
President alagidde nti ab’oluganda lw’abayizi abaafudde bawebwe buli maka obukadde bwa butaano, n’abayizi e 18 abakyali mu malwaliro bonna baweebweyo akakadde kamu kamu buli muyizi okubagumya n’okubabudabuda.
President era alagidde Ssaabawolereza wa government ayambeko abaalumiziddwa n’essomero, nannyini mmotoka eyakoze akabenje abaliyirire.
Bisakiddwa: Ddungu Davis