Abatuuze mu kitundu kye Buloba mu district ye Wakiso bafunye ku buweerero ab’ekitongole ekivunanyizibwa ku bisolo byo munsiko ekya Uganda Wildlife Authority, basitukiddemu okubataasa Engo ebadde ebatadde ku bunkenke.
Ab’ekitongole kya UWA bagumbye mu kitundu nga bwebekkaanya obuufu bwayo, basobole okugiyigga bagikwate
Ssentebe we kyalo Kiwumu Kalambi e Buloba Ssebugenyi Allayasi ,ng’ali wamu n’abatuuze baasoose kulaajana nga bagamba nti Engo yabadde etandise okubaliira ensolo zabwe, era nga batya yabadde enatera kulumba bantu.
Wabula omwogezi wa Uganda Wildlife Authority Bashir Hangi agambye nti babadde tebafunanga kwemulugunya kwonna, era olubiwulidde nga bayita ku CBS ku CBS basitukiddemu, baginoonye bagikwate.#