Bannakibiina kya NUP 13 abaakwatibwa mu Jinja kubigambibwa nti baakuba olukungaana olutaali mu mateeka, nate baziddwayo ku alimanda mu kkomera e Kirinnya.
Abvunaanibwa kulikoKakaire Ramathan, Nakiboneka Joan, Opio Frank nabalala ababadde balabiseeko mu maaso gomulamuzi Sumaya Kasule owa kooti ento e Jinja.

Omulabuzi agambye nti ab’oludda oluwaabi tebalabaseeko mu kooti, kwekusalawo nayongerako okusaba kwabwe okwokweyimirirwa okutuusa nga 08 February.
MunnaNUP era nga Mayor wa Kyengera Mathias Walukagga abaddewo mu kooti e Jinja, era násaba banakibiina okuggya mu bungi kwolwo balage banabwe obuwagizi.
Bisakiddwa: Kirabira Fred