Bya Tamale William.
Okusoma okwemitendera kumpi gyonna kuzeemu, wabula ng’ebisoomoza bingi ebikwetobeseemu ate buli ludda bitambula bigaludde ng’ekiso eky’obwogi obubiri.
Muzadde munnaffe ng’okyanoonya essomero mwonotwala Omwanawo, osanye okuta kubigere olowooze nekubino wammanga.
Obukulembeze; abalikulira bawuliriza era bagumiikiriza, bakyalimu ensa n’obuntu bulamu oba bawulira kimu sente ?.
Abaana nina bameka; ensimbi zinaasobola okubamazaako nga siwaliriziddwa kumala kutunda bibyo, basobole okumaliriza oba okufuna alipoota zabwe ng’olusoma luwedde?
Abaana bange bakola batya; mu by’rnsoma yomukibiina, ebyemikono oba ebyemizannyo.
Essomero lyomutwalamu basinga kwettanira kufuna bubonero bwa UNEB bungi okwongera okusikiriza abazadde, okwefunira sente oba lifuba okunoonya obusobozi bw’omwana mungeri ez’enjawulo?
Bwebyali sibwebiri ebintu bikyuse nnyo ensangi zino gwe oba mukwano gwo ekyokuba nti yasomera mu ssomero eryo, nga lirimu buli kyoyagaliza Omwana mu kadde ako kyandiba nga sibwebiri mu kadde kano.
Esomero gy’otutte Omwana agenda ku lifunamu ebikugasa nefamire ye agiwese ekitibwa oba otuusa liwalo nti nawe waweerera?
Fumiitizira gy’okukunula fees ezo nga nabamu mwewola neewole, n’abalala batunda biggya byabajjabwe okusomesa abazukkulu bannakabirye!
Mangi gasoosowaza nnyo oluzungu olwogerebwa ate ku mpaka omuli n’okugabirako ekibonerezo ebikakali eri Oyo aba avudde kubiragiro ebyo.
Kyandiba ekirungi olw’okuba ensi nnyingi zirweyambisa mu bulamu obwabulijjo, naye ate kyandiba nga kekamu kubutego obwokukakanya obuwangwa n’ennono zaffe ng’abadugabuvvu n’eggwangalyo.
Tulina okukiriza nti munsi teri Muntu misiru ng’ogyeko abakola eby’ekisirusiru oba eby’obugwagwa olwebigendererwa ebikusike.
omuntu asinga kulowooleza mu buwanga bwe ekimuyamba n’okukwata amangu ebyo byabeera atendekebwa okukola.
Bwewekaanya ennyo ensi abadugabuvvu zetuyaayaanira nti zakulakulana nnyo, zandiba nga zakula mu byenfuna ate nezisuula obuntu bulamu n’obugunjufu.
Kyetutaakoowe kuukujukiza kwekwefumiitiriza kwebyo byosobola okuziyiza n’amaaso go.
Abaana abamu obadde okimanyi nti batwala ebintu eby’obulabe ku ssomero ng’ebiso,obwambe, emisumaali,spray nebyobulabe ebirala byoyinza okulowoozako, nga babikozesa mu ngeri y’ebyokwerinda!?.
Muzadde munnange ekimu kwebyo kiyinza okugobya Omwanawo songa zo fees zabeera asasudde ebiseera ebisinga tezimudizibwa.
Abalala bagenda n’omuwendo gwensimbi nga abazadde sibebazibawadde awatali kwawula muwala oba mulenzi, fuba nnyo okumanya gyazigye era bwekiba kisoboka mulagire azitereke alizisanga ng’akomyewo.
Abawala abamu batuuka n’okubikukusa nga babisonseka mu bifo ebyensonyi, ne mu buleega basobole okubiyingiza mu masomero nga tebizuliddwa, eky’obulabe eri obulamu bwabwe n’embeera zabwe ku ssomero.
Bwekiba nti mu buli ngeri abazadde mwembi mulemereddwa okubaawo ng’Omwana addayo ku ssomero, yenna amutwala musabe akolenga bwewandikoze okwewala amaziga agava mu kulemererwa okwekaanya entambula z’omwanawo.
Abayizi mbagaliza olusoma olulungi!