
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II agambye nti omugenzi Dr Cyprian Kizito Lwanga waakujjukirwanga olw’Ebirungi byeyakolera Eklezia n’Ekika ky’Emmamba, era naalagira omusikaawe Silvester Nsubuga Wamala okutambulira mu bigere by’Omugenzi.
Mu bubakabwe bwatisse Omulangira David Kintu Wassajja mu kwabya Olumbe lweyali Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Omugenzi Dr Cyprian Kizito Lwanga, ku kyalo Kyabakadde mu Kyaggwe, Beene agambye nti Dr Kizito Lwanga yakolerera nnyo ekikaakye n’Obuganda.
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga yeebazizza Omugenzi Dr Cyprian Kizito Lwanga olw’Obuteekomoma ku nsonga z’ekikaakye n’Obuwangwa, kyokka naalaga okutya olw’abazzukulu ba Buganda abalagajjalidde ennono n’ebika mwebava, olwobutayagala kumanya bifaayo.
Kamalabyonna mungeri yeemu asabye enkola ey’Okulagirawo abasika ekomezebwe mu Buganda, essira lissibwe ku kwabya ennyimbe nga zesigama ku buwangwa n’ennono.
Omukubiriza w’Olukiiko lw’abataka Namwama Augustine Kizito Mutumba asabye Abaganda okukomya okwenyooma mu buli kyebakola, n’Okulaba nga byebakola byonna bigyayo ekitiibwa kya Buganda.

Ssabasumba w’essaza ekkuku erya Kampala Paul Ssemwogerere mu kitambiro kya mmisa kyakulembeddemu e Kyabakkadde, yeebazizza Omugenzi Dr Lwanga olw’Okwagaza bannaddiini Obuwangwa n’ennono.
Katikkiro w’ekika ky’Emmamba Joseph Mulindwa atenderezza omugenzi olwokuwagira ekikaakye mu byensimbi n’amagezi.
Bisakiddwa: Kato Denis