Alipoota ya Government egambye nti abantu 5 kwabo ekibiina Kya NuP bekirumiriza nti baawambibwa ebitongole byeby’okwerinda nebabuzibwawo, nti ba memba bakabinja kabayeekera aka Uganda Coalation Force For Change era government yeyabakwata nebasiba.
Ekibiina Kya National Unity Platform nga kiyita mu bukulembeze bwakyo obw’oludda oluvuganya mu parliament obukulemberwa Mathias Mpuuga Nsamba, kyakola olukalala lw’abantu 24 abaawambibwa ebitongole byebyokwerinda n’olukalala olulala lw’abantu 32 abali mu makomera abaasibibwa ku nsonga zebyobufuzi emyaka ebiri egiyise.
Wabula ku bantu 24 abagambibwa okuwambibwa okuva mu mwaka 2019 nebabuzibwawo, government enyonyoddeko abantu 5 bokka begambye nti bemanyiiko gyebali.
Government egambye nti bano abataano tebaawambibwa wabula bakwatibwa bukwatibwa mu mwaka 2022 nomwaka 2023.
Alipoota ekoleddwa ssabaminisita Robinah Nabbanja okwanukula Okwemulugunya kwoludda oluvuganya government enyonyodde nti abantu government beyakwata era beemanyi kuliko Kaweesa Ivan Ddamulira , Kuteesa Saulo, Ssembatya Vincent ,Ssengendo Peter ne Kato Hussein.
Alipoota eraze nti bano baakwatibwa okuva mu mwezi gwa September omwaka 2022, nga bano bakabinja kabayeekera aka Uganda Coalition forces for Change era nti baali benyigira mu bulumbaganyi obwali bukolebwa ku police ezitali zimu n’okutemula abasirikale mu bitundu bye Busunju, Kiboga, Wakiso
n’ebirala.
Kuteesa Saul, Ssembatya Vincent ne Ssengendo Peter baasibibwa mu kkomera lye Ssentema songa Kato Husein ye ali mu kkomera lye Kigo.
Ssaabaminisita agambye nti ye munnaNUP Anthony Agaba amanyiddwanga Bobi Young yakwatibwa mwaka guno 2023, era naasimbibwa mu kkooti y’amagye naggulibwaako emisango naasindiikibwa mu kkomera e Luzira.
Wabula government mu alipoota eno yegaanyi ebyokuwamba abantu, ssabaminisita Robinah Nabbanja agambye nti government tewamba bantu, bakwatibwa mu mateeka olw’emisango gyebabeera bazza, era basimbibwa mu kkooti nebasindiikibwa mu makomera agamanyiddwa mu mateeka.
Ssabaminisita Nabbanja agambye nti ebyogerwa abooludda oluvuganya government nti government ewamba abantu ,babyogera kufuna buganzi n’okugisiiga enziro
Wabula government ekyasirise ku bantu ekibiina kya NuP bekirumiriza nti baawambibwa abebyokwerinda okuva mu mwaka 2019,2020,2021 okuli Kabakama John Bosco ,Ddamulira John, Ssemuddu Michael ,Lukwago Martin ,Nalumoso Vincent ,Kanata Mohammed ,Musisi Mboowa nabalala.
Alipoota ya government eno ssaabaminista yabadde yakujanjula mu parliament ,wabula akulira oludda oluvuganya government yasabye omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa agigobe, nti kubanga byebakanyaako mu nsisinkano zebabadde batuulamu ku nsonga zabantu abaawambibwa tebyalabikidde mu alipoota eno.#