Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naagabula abantube ekijjulo ekyenjawulo mu Lubiri e Mengo, ku mukolo Omulangira David Kintu Wassajja n’Omuzaana Marion Nankya kwebajagulizza okuweza emyaka 10 mu bufumbo n’okubatiza omwana wabwe omumbejja Elizabeth Mpologoma.
Ssaabasajja abadde wamu ne Nnaabagereka Sylivia Nagginda.
Ssaabasumba w’essaza ekkulu erye Kampala Bishop Paul Ssemogerere, y’abatizza omumbejja Mpologoma ow’omwaka gumu mu missa ebadde mu lutikko e Lubaga.
Akalaatidde abazadde bonna okukuliza abaana babwe mu mpisa n’eddiini, olwo eggwanga lwerinasobola okubeera n’abakulembeze abalungi ab’enkya.
Omulangira David Kintu Wasajja Kitaawe w`Omumbejja yebazizza klezia katulika okunywerera ku mazima, n’okulwanirira eddembe ly’obuntu.
Omulangira Wasajja ayongedde okusaba abazadde okukuza abaana abalina ensa, nga balina empisa n’eddiini ate nga bategeera n’obuwangwa bwabwe.
Bwebamaze okubatiza n’ebagenda mu Lubiri e Mengo, Ssaabasajja gy’agabulidde abantu be.
Kamalabyonna wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga mu kwogerako eri Obuganda atenderezza obukulu bw’amasiga agaddukanyizibwako Obwakabaka, nagamba nti gasaanye okukuumibwa butiribiri.
Omuzaana Marion Nankya ne mwannyina Kevin Charles Nsubuga kulwa bajjajjaabe, beebazizza Olulyo Olulangira olw’ekirabo ky’abalangira n’Abambejja mukama kyabawadde.
Omumbejja Elizabeth Mpologoma ba jjajabe ab’emmamba bamuwadde ekirabo kya yiika z’ettaka 2 mu Buddu, alimireko emmwanyi.
Bisakiddwa: Musisi John ne Kato Denis