Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes yeemu ku ttiimu ezaakiise mu mpaka za Chan eziyindira mu Algeria, yakutte ekifo kya kusatu mu kibinja B.
Uganda Cranes egenda kufuna ensimbi za dollar ya America emitwalo 30 nga ke kawumbi kalamba n’obukadde 200, mu shilling za Uganda, olw’okukwata ekifo eky’okusatu.
Kino kidiridde ekibiina ekiddukanya omupiira mu Africa ekya CAF, okwongeza omutemwa gw’ensimbi ogugenda okugabanyizibwa ttiimu zonna ezakiise mu mpaka za CHAN, nga ensimbi zino zongezeddwa ebitundu 60%.
Omuwanguzi w’empaka zino agenda kufuna obukadde 2 obwa doola okuva ku kunsimbi 1.250.000, ttiimu ey’okubiri egenda kufuna emitwalo 80 egya doola ate ow’okusatu n’owokuuna bagenda kufuna emitwalo 50 egya doola.
Ttiimu 4 ezinaakoma ku quarterfinal zigenda kufuna emitwalo 40 egya dollar.
Ttiimu ezakutte ekifo eky’okusatu mu kibinja okuli ne Uganda Cranes zigenda kufuna emitwalo gya dollr 30 buli emu, ate ezasembye mu kibinja emitwalo 20 buli emu.
Omugatte ensimbi za dollar obukadde 7,900,000 ze zigenda okugabanyizibwa ttiimu zonna okuva kunsimbi obukadde 5,450,000.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe