Abatuuze be Bulanga ne Bunyantole mu district y’e Bugweri bazindiddwa obusaanyi bulya ebirime byabwe okuli lumonde, muwogo, ebitooke n’ebirala.
Obusaanyi buno bulya amakoola gonna, ekiviirako ebirime okukala.
Abalimi mu kitundu ekyo bawanjagiddr abakulembeze babwe mu district ne ministry y’ebigwa okubadduukirira ng’rmbeera tennasajjuka.
Sentebe w’e kyalo Bunyantole Mennya Abbu agambye nti obusaanyi buno bwegasseemu omusana, ekyongedde okubatiisa nti boolekedde enjala ani amuwadde akatebe.
Bisakiddwa: Fred Kirabira