kooti yénsi yonna ewozesa bakalintalo eya ICC ettukizza okuvunaana omunduumizi wa Lord’s Resistance Army Joseph Kony emisango egyekuusa ku lutalo olwali mu bukiika kkono bwa Uganda olwamala emyaka egisoba mu 20.
Omukungu okuva mu office yomuwaabi wa government akiika mu kkooti ya ICC Dahirou Sant-Anna ategeezezza nti emisango egisoba 33 gyejigenda okuvunaanibwa Kony, omuli okukwata abakazi, obutemu n’okuwamba abantu.
Bino abyogeredde mu lukungaana lwabannamawulire mu Kampala mwetegeerezza nti Kony agenda kuvunaanibwa ngatali kkooti, kubanga bamunoonyezza okumala ebbanga lya myaka 17 talabikanga.
Mu mwaka gwa 2005 kkooti yensi yonna yayiisa ebibaluwa bibakuntumye ku Kony ,era n’esaawo ekirabo kya bukadde bwa doola z’Amerika butaano eri omuntu yenna alina amawulire agakwata ku Kony gyeyekukumye, wabula nókutuusa kati teri yali yesowoddeyo.
Bisakiddwa: Betty Zziwa