President Yoweri Kaguta Museven ayongedde okukangula eddoboozi ku bantu abeefunyiridde okusanyaawo n’okutyoboola obutonde bw’ensi.
Museveni abadde ku mikolo gy’ameenunula e Kakeeka mu district ey’e Kakumiro n’agamba nti abantu anoonoona entobazzi, ebibira, abeesenza mu nsozi n’ebirala baabulabe nnyo n’okusinga mawale Kony.
Alabudde nti mu kiseera ekitali kyewala wakuyisa ekiragiro ekikakali ku bantu bano,nti ate tewali kukiyisaamu maaso.
Guno sigwemulundi ogusoose president okulabula ku boonoona obutonde bw’ensi, wabula afuuyira ndiga mulere.
Ku mukolo gwegumu, Museveni era alabudde abakulu b’amasomero abalemedde ku ky’okusolooza abayizi ensimbi z’ebisale by’amasomero by’agambye nti byebireetedde omuwendo gw’abayizi abawanduka mu masomero okweyongera okulinnya, nga kati bakola ebitundu 64 ku buli kikumi.
Museveni alayidde okufaafaagana n’omuntu yenna asaba abazadde ensimbi songa government yateekawo eby’enjigiriza ebitali byakusasulira mu Primary ne Secondary mu nkola emanyiddwa nga Universal Primary Education ne Universal Secondary Education.
President era alabudde ku bulyi bw’enguzi obwegulidde erinnya mu bitongole bya government n’asuubiza okufaafaagana n’omuntu.
Museveni agambye nti abasinze okwenyigira mu bulyi bw’enguzi be ba CAO ne ba DISO wamu n’abalala abavunaanyizibwa ku kugaba emirimu.
Ku bijavuzo by’olunaku luno, president Museven kwatongolezza luguudo lwa Buhimba-Nalweyo-Kakumiro oluwezaako kilo miter 93.
Museveni era ssentebe wa NRM mu ngeri yeemu atongozza ne office z’ekibiina kyabwe e Kakumiro awanaakolerwanga emirimu gy’ekibiina.
Ssaabaminisita Robinah Nabbanja ku mukolo guno atenderezza ebirungi ebikoleddwa government ya President Museveni n’agamba nti kati banna Uganda tebakyajula.

Nabbanja asabye Museveni obutava ku “Main” nti ne mu 2026 ku ye kwebasibidde olukoba.
Ku mukolo guno waliwo bannamukisa abaweereddwa emidaali egibasiima olw’ebirungi byebakoze ebikuumye erinnya lya NRM nga lyakaayakana.
Kubaweereddwa emidaali kuliko abavubaka abetikka omulimu gw’okukola ekitangaaza(Satellite) ya Uganda esookedde ddala mu bwengula, nabantu abalala abali eyo mu 50.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K