Abategesi b’ebivvulu abeegattita mu kibiina kyabwe ekya National Promoters Association beremye nti sibaakusasula misolo gya URA egyabasiddwako okutuusa nga batudde ne URA nebakkaanya ku ngeri omusolo guno gyegugenda okuyambamu omulimu gwabwe.
Abategesi b’ebivvulu bano nga bakulembeddwaamu president w’ekibiina kino, Abby Musinguzi Abitex, Kavuma Musa amanyiddwa nga KT, Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo, Baram Barugahara n’abalala basinzidde ku Calendar Hotel e Makindye, nebawakanya enteekateeka y’omusolo guno nti teyaleeteddwa mu mutima mulungi.
Abasinga bakkaanyiza kimu nga nkuyege nti URA esooke ebasisinkane ebasomese ku musolo guno nabo bajiwe endowooza yaabwe ku nsonga eno.
Abitex asabye abategesi okugira nga balinzeeko okuddamu okutegeka ebivvulu okutuusa nga bamaze okusisinkana URA ebannyonnyole ku nsonga eno.
Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo atabukidde aba URA okusoloozanga emisolo naye nge tegirina kirabika kigasa muntu wa bulijjjo, era alumbye Baram abadde agezaako okuwolereza URA n’amusaba okusooka okuwuliriza abategesi nga tannawolereza URA.
Bisakiddwa: Ssendegeya Muhammad