Enteekateeka efulumiziddwa ey’okukola enguudo esuubirwa okutandika mu mwezi gwa February 2023.
Mulimu okukola okuzimba emyala, okukola enguudo ezimu zissibweko kkolaasi, okuziba ebinnya mu makubo agawomoggose n’ekuzimba enkulungo ez’enjawulo.
Okusinziira ku amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba, kampuni ezigenda okukola omulimu guno zaamaze dda okuwebwa contracts, zirinze kiseera zitandike.