Ababadde baddukanya eddwaliro ly’omubaka wa Kawempe North Muhammad Sseggirinya erya Kawempe North Hospital libalemeredde, mu butongole baliggadde.
Omuyambi wa Sseggirinya era eyasigala mu nzirukanya y’eddwaliro lino Alex Luswa Luwemba agambye nti tebbakyasobola kutwala ddwaliro lino mu maaso, kubanga tebakyalina buyambi bwonna.
Agambye nti Omubaka yeyali avujjirira eddwaliro lino, era ngábalwadde babadde babajjanjabira bwereere.
Julius Katongole omu kubabadde baddukanya eddwaliro lino agambye nti ku bakozi bebaatandika nabo 50 basigazza 16 bokk,a nga nabo tebakyasobola kubasasula nakubabeezaawo.
Katongole ategeezezza nti bannamukago ababadde babavujjirira babawandiikidde mu butongole nti babiggyemu enta kubanga gwebaali bakolagana naye tebakyamuwuliza.
Sseggiriinya bweyawangula ekifo ky’obubaka, yasalawo okutandikawo eddwaliro okuyamba abalonzi be ng’abatandikirawo eddwaliro mwebaalina okufunira obujjanjabi obw’obwereere.
Ku ddwaliro lino abalwadde naddala bannakazadde babadde babafumbira ebyenda n’obuugi nga byonna babifuna ku bwereere.
Mu lukungaana lwabannamawulire olutudde ku ddwaliro wennyini e Kawempe, munnamateeka w’eddwaliro lino era kkansala wa Lubaga North James Mubiru agambye nti basoomozeddwa nnyo, wabula nágumya banna Kawempe nti ambulance egenda kusigala ng’ebayamba okutwala abalwadde mu malwaliro amalala nga bateekamu mafuta gokka.
Omubaka Sseggiriinya ali mu kkomera gyakulungudde ebbanga erisoba mu mwaka mulamba ne munne owa Makindye West Allan Ssewannyana, ku misango egyabaggulwako egy’ettemu ly’ebijambiya eryali mu bitundu by’e Masaka némiriraano.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.