
Mu mpuku z’obuwangwa ku kizinga Zzinga mu saza lya Beene ery’e Busiro kye kimu ku bifo gyetwasanze ebinyira ebingi ddala.
Ebinyira bigwa mu kkowe ly’erimu n’obuwundo era mu luzungu byonna biyitibwa “Bats”.
Byombiliri bino Ebinyira n’obuwundo abantu babyegobako lw’akuwunya,kukyafuwaza nnyumba zabwe saako okutya nti byandibasiiga endwadde ezimu kwezo eziva ku bisolo n’ezikwata abantu.
Ng’ogyeko ensonga ezo waggulu, Ebinyira n’Obuwundo birina emigaso kuba ebimu biRya ebiwuka okugeza ng’ensiri sakko n’ebiwuka ebirala ebitawaanya ebirime.
Ekinyira oba akawundo kamu kasobola okulya ensiri 600 mu saawa emu.
Obiwundo oba Ebinyira ebirya ebibala oba ebirime biyambako n’okutambuza enkwaso z’ebimera.
Abantu abasinga obungi balina endowooza egamba nti ebiwundo tebiraba naddala emisana – wabula Emmanuel Mukisa omusomesa w’obutonde bwensi ku zoo e Ntebe agamba nti endowooza eno sintuufu – obuwundo bulaba.
Wabula naddala obwo obubuuka ekiro bweyambisa enkola ey’amaloboozi ag’omuggundu (sound waves – echolocation ) nga amaloboozi gano geegayamba akawundo obutatomera bwekaba kabuuka ekiro, kuba ate era nga kino ky’ekikayamba n’okufuna eky’okulya anti eddoboozi eryo (echo) litomera eky’okulya ekyo nerizaayo obubaka eri akawundo.
Ku mwalo e Balabala ng’eno okutuukayo ng’oyise kulw’e Masaka n’oviirako e Kamengo ,osala mazzi ku nyanja Nalubaale, ebimu kubukwaniriza by’ebinyira ebirengejjera mu miti naddala egya Ovakedo era ng’abaayo bagamba nti ebiwundo bino bitandise nokubawa ku nsimbi eziva mu bulambuzi kuba abantu abamu naddala abava mu mawanga agebweru banyumirwa okubirabako saako okuwuliriza amaloboozi gabyo agajjojolikana.

Omu kubalambuza abalambuzi ku kizinga kino Zinga James Ojuwi agamba nti mu kusooka kino tebaakifaako naye mu nteekateeka yabwe ey’okwongera okutumbula ekizinga kino mu by’obulambuzi nga bayambibwako banamikago abalala okuli aba Zoo e Ntebe – Uganda Wildlife Conservation Education Center, saako n’abakulira district ye Mpigi ne Wakiso bakwongera okusitula eby’obulambuzi ku kizinga nga beyambisa ebinyira.
Munsi yonna mulimu ebika by’ebinyira 1000 naye wano mu Uganda ebika 23 byebyakakakasibwa.
Ebinyira oba Obuwundo bwebutonde bwoka obugwa mu lubu lwe lumu omuli abantu (Bats are the only flying mammals).
Bisakiddwa: Diana Kibuuka