
Ebintu by’abayizi b’essomero lya Iganga High school mu district ye Iganga bisanyeewo mu mulliro ogwokezza ekisulo kyabwe, ku saawa kkumi neemu nga bukya.
Omwogezi wa police mu kitundu ekya Busoga East SP Diana Nandaula agambye nti teri muyizi gwebaazudde ng’alumiziddwa mu muliro guno, kubanga bonna babadde bakedde mu bibiina mu kusoma kwokumaliiri.
Sentebe wa Iganga Northern division Kataba Mohamed nga yoomu kubaddukanya essomero lino, agambye ekisulo kyabayizi aba S3 kyekisanyeewo.
Police e Iganga etandise okunoonyereza ekiviiriddeko omuliro guno, naye nga ateebereza nti gwandiba nga guvudde ku masannyalaze.
Police etandikiddewo okunoonyereza, wadde nga n’okutuusa kati kikyali kizibu okumanya ebintu ebiviirako ebisulo by’abayizi okukwata omuliro.
Okuva ku ntandikwa y’omwaka guno amasomero agasoba mu 15 gakutte omuliro, wabula alipoota kikyali kizibu okuzifuna eri abantu ba bulijjo.
Bisakiddwa: Fred Kirabira