
Eggaali y’omukka etomedde omulenzi abadde asala oluguudo lwayo ng’atadde obuwuliriza mu matu.
Akabenje kano kagudde mu bitundu bye Mbuya mu gombolola ye Nakawa mu Kampala.
Akabenje kano kajidde mu kiseera ng’egaali yómukka yakatta abantu basatu mu bitundu byebimu, abaali mu mmotoka nga basala oluguudo lwe lumu nebafiirawo.
Abeerabiddeko naagabwe bagamba nti akabenje kano,kaguddewo ku saawa nga 2 ezókumakya ga leero,naye nga obuzibu buvudde kukuba nti omuvubuka atomeddwa eggaali yómukka eno,abadde atadde ebiwuliriza ku mattu nga bamukubira engombe naye nga tawulira.
Mayor w’e Gombolola ye Nakawa Paul Mugambe ,nga yómu kubatuuse mu kifo awabadde akabenje agambye nti abantu balina okubeera abegendereza ku luguudo lwe ggaali yómukka luno nti kubanga lufuuse kattiro.
Police etuuse mu kifo kino omulambo negujibwawo negutwalibwa mu ggwanika, era ng’omugenzi tanategerekeka mannyage .
Bisakiddwa: Lukenge Sharif