
Abaddu ba Allah bonna okwetoloola ensi yonna bagyaguza olunaku lwa eid Adhuha, eyokusala ebisolo, era nga lutuukidde mu kiseera nga embeera yebyenfuna yekanamye olw’ebbeeyi y’ebintu.
Okubuulira mu mizikiti egy’enjawulo okwetoloola Uganda, ba masheik bawanjagidde government esseewo ezamangu ezisobola okuyambako okukendeeza ebbeeyi y’ebintu, nga nabamu ekyabalemesezza okugula ensolo z’okusala.
Okutuukiriza sunnah y’okusadaaka ebisolo gwe gumu ku mirimu emikulu egikolebwa ku lunaku luno.

Okusala ebisolo kabonero ak’okujjukira ekikolwa kya Nabbi Ibrahim, Allah gweyalagira okusadaaka omwana we Ismael ng’agezesa okukkiriza kwe, wabula oluvanyuma namuwaamu endiga gyeyasadaaka.
Mufuti wa Uganda Sheikh Shaban Ramathan Mubajje asaalidde ku muzikiti gwa Kampala Mukadde neyennyamira olwa government okusirika obusirisi ng’ebbeeyi y’ebintu yeyongera okupaala.
Agambye nti noobutali bwenkanya busaanye bukome, naawa eky’okulabirako ekya government okwongeza emisaala abasomesa ba science aba Arts nebalekebwa ebbali so mga bonna embeera y’ebyenfun ebakosa kyenkanyi
Mu ngeri yeemu akulira abatabukiriki e Nakasero Amir sheik Yunus Kamoga alabudde abakulembeze boobusiramu abasibye entalo mu diini nti bano bebalabe be ddiini yóbusiramu era balina okukikomya.
Sheik Kamoga Eid agisaalidde ku ssomero lya Nakivubo Blue Primary school, n’ategeeza nti entalo abatabuliki bazisobola bulungi naye kumulundi guno,batunuulidenyo okwegata okubunyisa obusiramu mu bantu.
District Khadi wa Sembabule Sheikh Abudallah Ssemakula asabye abantu bonna naddala abakulembeze buli kyebakola okukisaamu Katonda nti lwebanaaweereza abantu n’obwenkanya.
Sheik Ssemakula abadde mu kusaala Eid eno okubadde ku muzigiti omuppya ogw’e Kizimiza mu ggombolola ye Lwebitakuli, era nga RDC wa Sembabule Hahaya Were saako Oc Station wa Poliisi ye Hidujja Abudnasser nabo webasaalidde.

Masigid enkulu e Lwebitakuli, Sheikh Muusa Umar Kiguddu owa Sharia ajjukiza abasiraamu nti okusala ebisolo ku lunaku luno nti kyankizo nnyo, kyokka nabasaba nga basanyuka okwewala ebidongo ate n’okulya nga tebadibuuda.
Hajji Sulait Mulumba, Ssentebe w’Obusiraamu e Sembabule naye asinzidde mukusaala e Mateete nawanjagira abantu bonna okulwanirira emirembe n’olutalo lwa Ukraine ne Rassia lukome.
Sheikh Jabeeri Umaru asinzidde mu kusaaza kumuzigiti e Miteete nayozayoza abasiraamu okutuuka ku lunaku luno kyokka n’abasaba okusaala kulwa Allah, sso ssi kweraga nakabampane n’ebanandaba batya.
Ku muzikiti gwa masigidi lauza e Matanga mu Buddu sheik Ahmadah Ibrahim Kiyemba yasaazizza Eid, nasaba government okubaako kyekola ku bbeeyi y’ebintu eyeyongera okulinna naddala amafuta.
Okusaala Eid Ku muzigiti e Kalangala Kutandise, kukulembeddwamu Shiek Musa Kaddugala, District Khadi we Kalangala.
Ssentebbe wa District e Kalangala Rajab Ssemakula naye yetabye mu kusaala Eid.
Mu mizikiti emirala okuli Kasekulo, Kisaba, Kachanga n’ewalala abasiraamu basadde mu bungi.
Abayisiramu mu district ye Bukomansimbi ku muzikiti gwe Mbaale – Meeru mu Butenga Town Council nga bakulembeddwamu Sheik Kassim Muzeeyi bawanjagide Allah nanyini buyinza,akyuse embeera asonyiwe abaddu be,nti kuba embeera eriwo okuli entalo mu mawanga agamu,ekyeya wamu n’ebeeyi y’ebintu eyekanamye bibuzizaako omwana w’omuntu emirembe.

Abasiramu ku musikiti gwa Masijid Noor Katale Bukwenda mu district ye Wakiso batabukidde abakulembeze bóbusiramu abamazeewo ettaka lyóbusiraamu nebegagawaza.
Bano obubaka babutidse amyuka district Kadth wa Wakiso Sheik Sowedi Zubail Kayongo akulembeddemu okubuulira mu muzikiti guno.
Ebifaananyi: Musa Kirumira