
Ttiimu y’essaza Buddu efunye obuwanguzi obusoose mu mpaka z’amasaza ez’omwaka guno 2022,bw’ekubye Buvuma goolo 2 – 0 mu kisaawe kya Masaka Recreation Grounds.
Goolo eziwadde Buddu obuwanguzi ziteebeddwa Bukenya John Vianne ne Bunyaga Bruno
Omupiira gwayo ogwasooka nga baggulawo empaka zino Buddu yagwa maliri 0 – 0 ne Mawogola.
Omupiira omulala Ssingo erumbye Mawogola omwayo n’egikubirayo goolo 1 – 0 eteebeddwa captain Amuli Mukasa.
Butambala erumbye Kabula omwayo n’egikubirayo goolo 2 – 1, Busiro ekubye Bugerere goolo 2 – 0 e Ssentema.
Ssese ekubye Busujju e Kasekulo goolo 1 – 0.
Empaka zino ziddamu okuzannyibwa enkya ku Sunday n’emipiira 4 nga Kyadondo egenda kuzannya ne Buluuli e Mwererwe, Gomba ne Kkooki e Kabulasoke, Bulemeezi ne Kyaggwe e Kasan.
Mawokota egenda kuttunka ne Buwekula e Buwama gyonna kusaawa 9 ez’olweggulo.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe