
Omumyuka wa Supreme Muft eyawummula era akulira ekiwayi ky’abasiramu abatabuliiki ekya Jamia Dawa Salafia Sheik Muhamood Kibaate Ssebugwawo alabudde abantu abeffuula kyebatali nebayita aba Jamia Dawa Salafia okukikomya bunambiro nti kubanga boolekedde okukubwa mu mbuga z’amateeka.
Sheik Kibaate agambye nti abakozesa erinnya ly’ekibiina kino okufuna ensimbi ne ebintu ebikalu bakikola mu bukyamu.
Abakozesa erinnya lya Jamia ddaawa Salafia abawadde nsalesale wa mwezi ogujja ogwa August 2022, okuba nga bakomezza okulikozesa.
Okwogera bino Sheik Kibaate Ssebugwawo abadde yetabye mu kusaala kwa eid adhuha ku St Lawrence University ,abasiramu abatabuliiki abegattira mu kibiina kya Jamia Dawa Salafia webasalidde eswallah ya eid .
Mungeri yemu Kibaate asabye abasiraamu buligyo okukuza olunaku lwa eid nga bagoberera amateeka gobusiraamu , n’ajjukiza abayisiraamu obutewola ensimbi zakugula bisolo byakusadaaka nti eddiini tekikkiriza, wabula bakozese akatono kebalina .
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius