Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’aweereza abaddu ba Allah abasiraamu Eid adhuha ennungi.
Eid eno ey’okusala ebisolo yakukuzibwa olunaku lw’enkya olwomukaaga.
Omutanda asabye abasiraamu okukozesa Eid eno okusabira eggwanga lyaffe okuvvuunuka embeera abantu gye bayitamu, olwókwekanama kwémiwendo gyébintu ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo, obubbi nóbutemu mu bitundu byéggwanga abitali bimu.
Omuteregga agambye nti waliwo abantu bangi abafudde mu ngeri etategerekeka, abalala bali mu makomera nábalala babuziddwawo ne batamanyikako gyebasibiddwa.
Ccucu Musota era asabye government okutereeza amadaala néngereka yémisaala gyábakozi kikendeeze ku kwediima kwábakozi okuyitiridde ensangi zino.
Ssebuufu-Bwango asabye abantu bonna okusabira amazima nóbwenkanya mu mateeka agakwata ku butonde bwénsi agakugira abantu okwesenza mu ntobazi, ate olubagobamu newabaawo abeesenzamu nga beyita mu musigansimbi.
Nnyininsi agambye nti wadde ebisomooza ngébyo bingi, nti naye abantu tebasaanye kugwamu ssuubi nti kubanga Katonda ali wamu nábakkiriza nga bwe gwali ku mulembe gwa Jajja wábakkiriza Ibrahim.