Abaddu ba Allah abayisiramu munsi yonna basuze bulindaala nga betegekera okusaala, Idd Adhuha Al Mubaraka, awamu n’okutuukiriza sunnah y’okusadaaka ebisolo nga egimu ku mirimu emikulu egikolebwa ku Eid luno.
Okusadaaka ebisolo kubeerawo oluvanyuma lw’okusaala, era kitwala ennaku 4, okuli ennaku 3 ezókwanika ennyama, era abasiramu basadaaka ebisolo okuli endiga, embuzi, ente ne Ngamiya.
Okusala ebisolo kabonero ak’okujjukira ekikolwa kya Nabbi Ibrahim, Allah gweyalagira okusadaaka omwana we Ismael nga agezesa okukiriza kwe, naye n’oluvanyuma namuwaamu endiga gyeyasadaaka.
Ebisolo ebisalibwa byonna biteekeddwa okuba nga tebirina kamogo konna.
Ng’abaddu ba Allah bali mu kejago kokunoonya ensolo zokusala ku Eid, District Khadi wa Wakiso Sheikh ELIAS Kigozi, ngaali wamu ne UMOJA Helping Hearts Uganda bawaddeyo embuzi n’endiga ezisobye mu 400 ziwebwe abantu abatalina busobozi bugula kisolo.
Ebisolo bino bikwasiddwa abakulembeze abayisiraamu bazigabire abatalina busobozi.
Hajji Ssesanga Edirisa Magala Kiryangenjovu ssentebe w’Abasiraamu mu district ye Wakiso asiimye Sheikh Kigozi olw’okubafunira ababawadde ensolo z’okusala ku Eid, omukolo gubadde Kaaliiti mu disitulikiti ye Wakiso.
Immam omukulu owómuzikiti gwe Kibuli, Sheikh Abdul Salaam Mutyaba, abuulidde abasiramu okusadaaka ekisolo ekiramu obulungi ate bagoberere emitendera emituufu nga bagaba ennyama eno nga batandikira mu bantu bómumaka gabwe.
Sheikh Abdul Salaam Mutyaba, agambye nti okusaala ku muzikiti e Kibuli kugenda kutandika ku saawa 3 ezókumakya era abasiramu batekeddwa okukwata obudde kuba teri kuddamu kusaala mulundi gwakubiri.
Ku Eid eno abasiraamu bagenda okusaala nga basiibye olwo ne basibulukuka nga bamaze okusaala, kyokka okusiiba kuno sikwabuwaze.
Bisakiddwa; Issah Kimbugwe ne Tamale William