
Ensonga yémisaala gyábakozi ba government ekutte wansi ne waggulu; president Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, yeevumbye akafubo nábakulu mu magye okuteesa ku nsonga yémisaala gyábebyokwerinda.
Abakozi ba government mu bitongole ebyenjawulo bagala kubongeza misaala, era nga waliwo amaloboozi agazze gavaayo nga batiisatiisa okussa wansi ebikola.
Abakasembayo be basomesa b’amasomo ga arts ababadde mu kediimo akamaze wiiki ssatu,so nga aba government ez’ebitundu akaabwe akabadde katandika olwaleero baakayimirizza, oluvannyuma lw’okubasuubiza nti government eteekateeka okwongeza emisaala gy’abakozi baayo bonna.
President Museveni yasazeewo nti basooke bakole ku misaala gyábebyokwerinda, okuli aba Police,abámakomera, nábámagye.
President Museveni ku Bbalaza ya wiiki eno yakisinyaako nti emisaala gyábakozi ba government gyetaaga okwetegerezebwa, nga muno mwemuli négyabeebyokwerinda, era nálabula nti teri agenda kumupapya kwongeza misaala nga teyeetegese.
Ensonda zitegeezezza CBS nti President Museven yasisinkanye olukiiko olwókuntikko olwéggye lya UPDF olwa High Command, okuteesa ku ngeri gye bagenda okwongeza emisaala gyábajaasi.
Ensonda era zitegeezezza nti president ayagala omujaasi asembayo okufuna omusaala omutono abeere nga wakiri afuna akakadde ka shs kamu (sh 1,000,000/=) okuva ku mitwalo 40 gye babadde bafuna.
Kitegeerekese nti okuva mu nsisinkano eno, President Museven yatenderezza abajaasi nábeebyokwerinda abalala olwókugumiikiriza ne bateekalakaasa, wadde nga babadde bafuna obusente butono.
Nnaku ntono eziyise; waaliwo ebiragiro ebitakwatagana ebyayisibwa abaduumira amagye géggwanga, okuli Lt. Gen. Peter Elwelu amyuka omuduumizi wéggye lya UPDF, ne Lt. Gen. Muhoozi Keinerugaba aduumira eggye eryókuttaka, nga byonna biraalika abajaasi okubeera obulindaala, wabula nga ekigendererwa kyabwe tekyategeerekeka.
Omwogezi wámagye Brig. Gen. Felix Kulayigye, akakasizza nti ensisinkano ne President yabaddewo nti naye nga ensonga zebaabadde boogerako zikwata ku magye.
“Ensisinkano ne president yabaddewo ng’ensonga zamagye, mbadde simanyi nti bannamawulire ebadde ebakwatako”
Wabula tekinategerekeka basirikale lwebagenda kutandika kwongezebwa musaala, kubanga tejagerekebwa mu mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi guno 2022 /2023 eyakatambulako wiiki emu yokka.
Minister wábakozi ba government Wilson Muluuli Mukasa naye yasisinkanye abakulira ekibiina ekigatta abakozi ba government ababadde bategeka okwediima okutandika nólwaleero, nábawooyawooya nti government egenda kugonjoola ensonga zabwe.
Abakozi mu University za government abatali basomesa, nabo baalangiridde nti bateekateeka akeediimo, lwakulwawo kubongeza ku misaala.
Bbo abasomesa abegattira mu kibiina ki UNATU, kyapondooka ne kiyimiriza akeediimo kábasomesa abámasomo ga Arts, nga kigambibwa nti mu nsisinkano gyebaalimu ne President Museveni yabakayuukira ebitagambika nebatya.
Ensonda zaategeeza nti omukulu yalaalika nókussa envumbo ku Account za UNATU mu Bank, okubasindika mu masomero agéwala, nókukibateekako nti bawagizi ba ludda oluvuganya government.
Bisakiddwa: Nsubuga Alex