
Olukiiko olugenda okuteekateeka okujjukira amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’omulundi ogwa 29 lutongozeddwa.
Amatikkira ga Kabaka gakubaawo nga 31 July,2022 mu lubiri lwa Kabaka e Mengo.
Gakutambulira ku mulamwa ogw’okulwanyisa Mukenenya mu Bizinga ng’abaami be basaale.
Olukiiko lutongozeddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu Bulange e Mengo.
Sipiika w’olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwagga Mugumbule ye ssentebe, amyukibwa Owek Joseph Kawuki minister omubeezi owa government ez’ebitundu mu bwakabaka,Omuwandiisi ku lukiiko luno ye Josephine Nantege Omuwandiisi owenkalakkalira mu wofiisi ya Katikkiro.
Ba memba abalala ku lukiiko luno kuliko Owek Noah Kiyimba omwogezi w’Obwakabaka era minister w’ebyamawulire, omuk David Ntege avunaanyizibwa ku bagenyi ,ssaako major Stanley Musaazi owebyokwerinda.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza nti emikolo gyokujjukira amatikkira ga Beene omwaka guni gyakubeera misaamusaamu, nti kubanga wabaddewo emikolo mingi egitegekeddwa nga giddiringana.
Kampuni ya Airtel Uganda bebavujjirizi abakulu ab’emikolo gino.
Ali Balunywa nga ye kitunzi wa Airtel Uganda, agambye nti beeyama dda okuwagira Obwakabaka mu buli nteekateeka yonna, neyeebaza Obwakabaka olwokussa Obweesige mu Airtel entakera.
Bisakiddwa: Kato Denis