
Ekibiina ekiddukanya omupiira ku semazinga wa Africa ekya CAF kironze abazannyi 2 bannaUganda aba ttiimu y’abakazi ey’omupiira ogw’ebigere eya Crested Cranes bavuganye ku ngule y’abazannyi abasinze mu 2021/2022.
Abalondeddwa ye Fauzia Najjemba ne Fazila Ikwaput, okuvuganya ku ngule ezenjawulo ezabazannyi abasinze banabwe season eno.
Fauzia Najjemba avuganya ku ngule y’omuzannyi omuto asinze, era kulukalala luno avuganya n’abazannyi abalala 9.

Fazila Ikwaput owa club ya Lady Doves avuganya ku ngule y’omuzannyi wa club asinze, era avuganya nabazannyi abalala 29 ku ngule eno.
Okulonda abazannyi abasinze kugenda kubeerawo nga 21 omwezi ogwa July omwaka guno e Morocco.
Ttiimu ya Crested Cranes okutwalira awamu tenafunayo kabonero konna mu mpaka eziyindira e Morocco.
Emipiira gyombi ebiri gyeyakazannya ekubiddwa, Morocco yagikuba 3 – 1, ate Senegal negikuba 2 – 0.
Olunaku olw’enkya olw’okutaano edda mu nsiike, ng’ezannya Burkinafaso.

Mu kibinja A Uganda mweri, mwemuli n’abategesi aba Morocco abakikulembedde n’obubonero 6, Senegal yakubiri n’obubonero 6, Burkinafaso ya kusatu, Uganda yesembye wansi mu kibinja.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe