Abazannyi 20 bebayitiddwa okutendekebwa ku ttiimu y’eggwanga eya Uganda Sand Cranes ey’omupiira ogw’ebigere, oguzanyibwa mu musenyu ogwa Beach Soccer.
Omutendesi wa tiimu eno Salim Jamal Muwonge, agambye nti betegekera kuzannya ne ttiimu ya Comoros, mu mpaka z’okusunsulamu amawanga aganakiika mu mpaka za Beach Soccer Africa Cup of Nations ez’omwaka guno 2022.
Omutendesi Salim olumaze okulangirira ttiimu eno ku kitebe kya FUFA e Mengo, neyingirirawo enkambi ku FUFA Technical Center e Njeru okutandika okutendekebwa.
Oluzannya olusooka wakati wa Uganda Sand Cranes ng’ettunka ne Comoros lugenda kubeerawo nga 22 ne 24 omwezi guno ogwa July 2022 e Comoros, ate oluzannya olw’okudingana lubeerewo nga 5 ne 7 omwezi ogujja ogwa August wano mu Uganda.
Omuwanguzi wakati wa ttiimu zino zombi, wakukiika butereevu mu mpaka ezakamalirizo eza Beach Soccer Africa Cup of Nations, ezigenda okubeerawo okuva nga 21 okutuuka nga 30 October omwaka guno 2022 e Maputo Mozambique.
Uganda Sand erwana okuddamu okukiika mu mpaka zino omulundi ogw’okubiri ogw’omudiringanwa, nga yabaddeyo mu mpaka za 2021 ezabadde e Senegal, yawandukira ku mutendera gwa semifayinolo
Abazannyi abayitiddwa
Abakwasi ba goolo:
Samson Kirya (Buganda Royal BSC), Meddie Kibirige (St. Lawrence BSC), Ronald Mutebi (St. Lawrence BSC), Siraje Masembe (Mutoola BSC)
Abazibizi:
Sharif Lubega (Buganda Royal BSC), Hassan Ali Luboyera (Buganda Royal BSC), Paul Lule (Buganda Royal BSC), Jonathan Kikonyogo (St. Lawrence BSC), Rica Arch Byaruhanga (St. Lawrence BSC), Allan Katwe (St. Lawrence BSC), Churchill Katamba (Mutoola BSC), Ashraf Apuuli (Mutoola BSC)
Abawuwuttanyi:
Isma Kawawulo (MUBS BSC), Baker Lukoya (St. Lawrence BSC), Ambrose Kigozi (Buganda Royal BSC), Joshua Lubwama (St. Lawrence BSC), Shaka Ssozi (Jinja Lions BSC), Nicholas Mwere(Jinja Lions BSC), Godfrey Lwesibawa (Buganda Royal BSC), Brian Nkuubi (St. Lawrence BSC)
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe