
Ababaka ba parliament bemulugunyizza ku bantu abawandiisiddwa okwegatta ku ggye ly’eggwanga erya UPDF, nti bangi bagiddwa mu bitundu birala abaana enzalwa eza district nebasuulibwa ettale.
Ababaka ba parliament bagala enkalala zonna okuwandiisiddwa abantu mu buli district, zizzibweyo mu bitundu ziddemu zekennenyezebwe.
Ababaka bano nga bakulembeddwamu omubaka omukyala owa district ye Tororo Sarah Opendi bategeezezza, nti buli district yawebwa omuwendo gw’abantu abalina okuyingira mu UPDF nti naye ekyewunyisa abasinga obung baasuuliddwa kyokka enkalala ziraga nti omuwendo gwaweddeyo.
Sarah Opendi ategezezza parliament nti district ye Tororo yawebwa abantu 120, nti naye abaawandisiddwa ssi baana be Tororo.
Opendi asabye parliament.nti enkalala ezo UPDF esooke ezizze ku district, abakulembeze baayo bongere okuzekenenya okukakasa nti oba bonna abali kunkalala ezo ddala baana nzalwa okuva mu district ezo.
Ababaka era bagala nookuwandiisa abantu abagala okwegatta ku UPDF kusoike kuyimirizibwe okutuusa ng’enkalala zimazze okwekenenyezebwa, kiwe omukisa ebitundu byonna okuvaamu abantu abaweereza eggwanga lyabwe.
Sipiika wa Parliament Anita Among alagidde minister w’ebyokwerinda ne ssaabaminister okukakasa nti enkalala zaababadde bamaze okulondebwamu okwegatta ku UPDF, zizzibweyo ku district abakulembezze baazo bazekenneenya okusaawo obwenkanya mu buweereza.
UPDF eri mu nteekateeka y’okuwandiisa abantu 10,000 okulyegattako, okuli abasirikale ba bulijjo, abasawo, n’abasirikale boomu bbanga.
Bisakiddwa : Ssebadduka Paul