Abakulembeze ba government ez’ebitunda nga bayita mu mukago ogubagatta ogwa Uganda Local Govenment Association ULGA battukiza eky’okusaba okubongeza emisaala.
Baliko ebbaluwa gyebawandiikidde president Museven nga bagala bamusisinkane bamubuulire ensonga zabwe.
Bagamba nti ng’abakulembeze abaalondebwa abantu bakola emirimu mingi,n’obuvunaanyizibwa bwebatuusa ku bantu bungi wabula basasulwa akasente katono.
Ba sentebe ba district bawadde eky’okulabirako nti district zebatwala nenne, era nga balina okutuukira ddala ku bantu, naye buli mwezi omusaala bafuna obukadde 2 bwokka.
Bagala omusaala guno gukubisibwemu emirundi ena, wakiri babeere nga bafuna obukadde 8, n’abakulembeze abalala bwebatyo.
Bagala era ensisinkano eno ne president bagikozese okwogera ku keediimo k’abakozi ba government ez’ebitundu akabindabinda ,akalangirirwa okutandika ku lwokuna nga 07 July,2022.
Omukulembeze w’ekibiina Kya ULGA era ssentebbe wa district ye Kabalore Richard Rwabuhinga asabye omukelembeze w’eggwanga mu bbaluwa gyamuwandiikidde, nga ssentebe wa ULGA,ensisinkano eno ebeewo mu bwangu ng’ekizimba tekinasamba ddagala.
Aba government ez’ebitundu bagenze okuwandiikira president Museven, nga yakasisinkana abakulembeze b’abasomesa naabalagira okudda mu bibiina basomese ng’ensonga z’emisaala gyabwe bwegikolebwako.
Abasomesa b’amasomo ga Arts bamaze wiiki satu nga bediimye okusomesa, nga bagala government ebongeze omusaala nga bweyakola ku bannabwe abasomesa amasomo ga sciences.