
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde abakulembeze ku mitendera egyenjawulo okukomya okulowooleza mu byenfuna byokka nebaleka eby’obulamu by’abantu bebakulembera nga bibi, ate nebalowooza okubakamulamu ensimbi.
Katikkiro agambye nti singa eby’obulamu tebiweebwa nkizo, ebyenfuna byabannauganda ne ggwanga lyonna okutwalira awamu byakusigala emabega.
Katikkiro abadde ku mwalo gwe Busonzi, bwabadde asomesa abatuuze baayo okutangira siriimu okusaasaana.
Katikkiro mungeri yeemu asabye nti obuweereza bwa government eri omuntu waabulijjo buteekebwe mu nkola, n’okusitula ebyenfuna, byagambye nti biwalirizza bannansi bangi naddala abakyala okuggweera mu bikolwa ebiviirako siriimu okusasaana.
Omubaka omukyala akiikirira Kalangala mu parliament Hellen Nakimuli agambye nti government tenafaayo kuteeka ddagala limala mu malwaliro ate nga balina matono ku bizinga, n’okubafunira entambula ku bizinga ebiri ewala.
President w’ekibiina ekigatta abawuliriza ba Radio CBS Omutaka Ssemafumu Kaggwa, ategeezezza Katikkiro nti obukambwe bwa bannamagye obusukkiridde ku Nnyanja, agambye nti nakyo kibakosezza nnyo ng’ababeera ku bizinga era buboongedde obwavu obutagambika.
Bisakiddwa: Kato Denis