
Police mu bendobendo lya Wamala etandise okuyigga abatemu abakkakanye ku musuubuzi nebamusobyako oluvannyuma nebamutta.
Enjega eno egudde ku kyalo Kazinga mu gombolola ye Malagala mu ssaza Busujju mu district ye Mityana.
Omulambo gwa Najuuko Fatuma 44 gusaangiddwa mu nnimiro y’omutuuze ategerekeseeko erya Kasozi gyeyabadde agenze okusuubula ensujju.
Abamu ku batuuze bategezezza nti bakomye okumulabako akawungeezi kajjo ng’agenda okugula ensujju,wabula tebazeemu kumulabako okutuusa leero bwebagudde ku mulambo gwe.
Omwogezi wa police mu bitundu by’e Mityana Racheal Kawala ategezezza nti omulambo gujiddwayo gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro lye Mityana.
Bisakiddwa: Alice Naggirinya