Tiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gwa basketball eya Uganda Silverbacks, eteereddwa mu kibinja E mu mpaka z’omwetololo ogw’okubiri, ez’okusunsulamu ensi ezinaakiika mu mpaka z’ensi yonna eza FIBA World Cup ez’omwaka ogujja.
Mu mwetololo ogwasoose ogwabadde mu kibuga Kigali e Rwanda, Uganda Silverbacks yakubiddwa emizannyo gyonna 2 gye yazannye. Yakubiddwa Cape Verde obugoba 87-78 ne Nigeria yagikubye ku bugoba 91-72.
Wabula Uganda Silverbacks yayiseewo okugenda ku mutendera ogw’okubiri era ogusembayo ogw’okusunsulamu, oluvanyuma lwa Mali okuwanduka mu mpaka zino, olw’abazannyi ba ttiimu eyo abediimye olw’obutasasulwa nsako yabwe Uganda neyitirawo ku lukisakisa olwo.
Kati Uganda mu kibinja E erimu ne Cape Verde ,Nigeria, Ivory Coast, Angola ne Guinea ate mu kibinja F muteereddwamu South Sudan, Tunisia, Cameroon, Misiri, DR Congo ne Senegal.
Emipiira mu bibinja bino 2 gyakuzanyibwa mu mwezi gwa August, okuva nga 26 okutuuka nga 28 omwaka guno 2022.
Zaakuddamu era okuzannyibwa mu February nga 24 okutuuka nga 26 omwaka ogujja 2023.
Amawanga ataano aganayita mu bibinja bino gegagenda okukiikirira Africa mu mpaka z’ensi yonna eza FIBA World Cup, ezinabeera mu Indonesia, Japan ne Philippines omwaka ogujja 2023.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe