Ministry y鈥檈byobulamu emalirizza okubaga ebbago ly鈥檈tteeka erigenda okulu饾澏amya okusimbuliza, okutereka n鈥檕kutambuza ebitundu by茅mibiri gy谩bantu ebibeera bigenda okussibwa mu balwadde.
Etteeka lino lituumiddwa the Uganda Human Organ, Donation and Tissue Transplant Bill 202.
Mu bbago lino eririndiriddwa okwanjulwa mu parliament olunaku olw鈥檈nkya, lirambise byonna ebisuubirwa okukolebwa mu ddwaliro e Mulago, awagenda okuterekebwa ebitundu ebibeera bisiimbuliziddwa mu muntu omu.
Ebikwata ku muntu abeera asimbuliziddwamu ekitundu kyonna, n贸muntu abeera assiddwamu ekitundu ky贸muntu omulala, byonna byakukuumibwanga nga byakyama.
Ministry y茅by贸bulamu emaze ebbanga ng茅teekateeka ebbago lino, wabula nga wabaddewo kalumanywera ku nnambika y茅nsonga ssatu.
Ensonga esooka ebadde ku kyakutondawo akakiiko akanaalu饾澏amya okusimbuliza kw茅bitundu by鈥檕mubiri ebyomunda akayitibwa Tissue Transplant Council oba Board.
Ensonga endala ekwata ku ndagaano erina okukolebwa wakati w鈥檕muntu abeera agenda okuggibwamu ekitundu ky贸mubiri kyonna, singa asalawo okubiggyamu enta.
Kalumanywera omulala abadde ku ngeri amalwaliro aganakwasibwa omulimu guno gyegasobola okuwanyisiganyamu ebitundu ebyo, singa wabeerawo omulwadde gwebalina okubisaamu.
Bino byonna akakiiko ka parliament akavunaanyizibwa ku by贸bulamu, olunaku lw茅nkya ku lwokubiri kagenda kutandika okulyekennenya.
Omwogezi wa ministry y鈥檈byobulamu Emmanuel Ainebyona agambye nti okwebuuza ku nsonga zino zonna ezirambikiddwa mu bbago lino kwawedde, ekisigalidde kyakulyanjula mu parliament.
Alipoota ezize zikolebwa ziraga nti government ya Uganda esaasaanya obuwumbi bwa shs obusoba mu 300 buli mwaka, okutwala ebweru w茅ggwanga abakungu baayo ababeera betaaga okukyusa ebitundu by贸mubiri.
Ebiwandiiko mu ddwaliro e Mulago biraga nti 聽omuntu okutwalibwa ebweru w鈥檈ggwanga okukyusibwa ebitundu by贸mubiri, 聽聽聽聽yetaaga obukadde bwa shs obuli wakati we 90 ne 130.
Ebitundu ebisinga 聽okwetaagibwa kuliko omutima, amawuggwe, ekibumba, eriiso, ensigo nebirala.