
Police mu district ye Mukono eriko abantu 10 beekutte nga bateeberezebwa okubeera mu kabondo ka bamukwata mmundu abazze batigomya bannamukono.
Abakwate basangiddwa n’emmotoka UAD 728/Y ,mmotoka endala UAZ 283X ne pikipiki taano, emmundu emu n’ejjambiya 9.
Abakwate bategezezza abebyokwerinda nti bamaze emyaka 5 nga batigomya bannamukono, era bazze beenyigira mu kubba mmotoka n’okumenya amayumba g’abantu n’okumenya supermarkets.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga asinzidde mu nsisinkano ne bannamawulire ku kitebe kya police ekikulu e Naggulu, nasaba bannyini business omuli amaduuka n’amasundiro g’amafuta okussa camera mu bifo ebyo okwerinda abazigu.
Enanga agambye nti era batandise okunoonyereza ku misango gy’okubbisa emmundu egizze gyogerwako abagoba ba mmotoka mu bitundu nga Bombo Kalule,Kyengera ne Maya.