
Ttiimu y’essaza Ssingo etandise nabuwanguzi mu mpaka za masaza ez’omwaka guno ez’omupiira ogw’ebigere ekubye Kyadondo goolo 1 – 0.
Goolo ya Ssingo eteebeddwa Amuli Mukasa mu kisaawe kya Ssaza Grounds e Mityana.
Mungeri Bulemeezi erumbye Busujju omwayo mu kisaawe e Maanyi n’egikubirayo goolo 2 – 1.
Kyaggwe eremaganye ne Busiro e Nakisunga goolo 1 – 1.
Bugerere ekubye Ssese e Ntenjeru goolo 2 – 1.
Buwekula ekubye Gomba goolo 1 – 0 e Kasenyi.