
Omu ku bantu ababadde bagenze okusunsulwa okuyingira mu ggye lya UPDF atondose naafiirawo ng’agezesebwa.
Babadde mu kisaawe e Iganga mu Busoga, natondoka nagwa wansi natandika okwesika, babadde bamuggyawo bamudduse mu ddwaliro n’assa ogwenkomerero.
Omugenzi ye Wanyasi Tomasi eyavudde e Bugiri.
Omwogezi w’ekibinja ekisooka ekya UPDF Major Charles Kabona agambye nti omugenzi yoomu ku bantu abazze okwewandiisa asunsulwe okwegatta ku UPDF.
Agambye nti ekyennaku babadde bakatandika okubekebejja okuzuula oba ng’obulamu bwabwe bubasobozesa okwegatta ku magye, tasobodde kumalako naafa.
Omulambo gutwaliddwa mu ddwaliro e Iganga okwongera okugwekebejja.
Mu kiseera kino UPDF egenda mu maaso n’okusunsula abantu omutwalo mulamba okwetoloola eggwanga lyonna, omuli abasirikale aba bulijjo, abasawo n’abasirikale b’eggye eryomu bbanga.
Okusinziira ku mwogezi wa UPDF Brig.Gen.Felix Kulaigye, okusunsula mu buvanjuba bw’eggwanga kwawedde, bazaako Kampala mu kisaawe e Kololo enkya ku lwomukaaga.
Bisakiddwa: Kirabira Fred