
Kkooti ejulirwamu eragidde kkooti enkulu okuddamu okuwulira omusango gw’ebyokulonda Munnakibiina kya NUP Hamdan Semugooma gweyaloopa, ng’awakanya obuwanguzi bwa Salim Uhuru kubwa Mayor bwa Kampala Central.
Abalamuzi 3 nga bakulemberwamu Egonda Ntende basizza kimu nebanenya omulamuzi wa kkooti enkulu Isaac Muwata, olwokumala gagoba musango nga tawuliriza bujulizi bwagwo mu bujjuvu.
Mu October wa 2021 kkooti enkulu yagoba omusango gwa Ssemugooma bweyakizuula, nti yabuuka emitendera gyeyalina okuyitamu, nasalawo okuddukira mu kkooti nga tasoose kwemulugunya eri akakiiko k’ebyokulonda.
Wabula Semugooma yasalawo okujulira ngawakanya ensala eyo, era abalamuzi ba kooti ejulirwamu bakkiriziganyiza naye nebategeeza nti ensonga eyobutemulugunya mu kakiiko ka kulonda yali nsonga ntono nga tegobya musango.
Balagidde kkooti enkulu okuddamu okuwulira omusango guno mu bujjuvu bwagwo, era guwebwe omulamuzi omulala.
Semugooma alumiriza Uhuru okugulirira abalonzi, okubba obululu, okujingirira ebiwandiiko n’okukyusakyusa amannya ekimenya amateeka.
Mu kalulu ako akaaliwo mu 2021, Salim Uhuru yalangirirwa n’obululu 13,114, ate Ssemugooma bwebaali ku mbiranye n’akwata kyakubiri n’obululu 10,654.