Police y’ebidduka eyisizza ebiragiro ebigenda okugobererwa abagoba b’ebidduka mu Kampala nemiriraano, mu nteekateeka y’okudduka emisinde gy’amazaalibwa g’Empologoma ku Sande eno.
Enguudo zonna ezeegatta ku luguudo Ring road olwebulungudde Olubiri lwa Kabaka e Mengo, tezigenda kukkirizibwako kidduka kyonna bwezinaawera ssaawa 12 ezokumakya.
Oluvannyuma lwessaawa 12 ezokumakya tewali kidduka kyonna kigenda kukkirizibwa kuyingira mu Lubiri lwa Beene e Mengo.
Ebidduka by’abagenyi abayite era abenjawulo byakusimbibwa mu kisaawe ky’essomero lya Lubiri High School, n’ekibangirizi ekiri waggulu w’ekisaawe munda mu Lubiri.
Emmotoka zino zaakuyita mu mulyango gwa Wankaaki w’Olubiri
Tewali mmotoka yadde pikipiki egenda kukkirizibwa kukozesa luguudo lwa Kabakanjagala okuva mu kaseera nga Ssabasajja asimbudde emisinde gino.

Abaddusi bakudduka emisinde egya kiromita 5, 10 ne 21.
Abadduka emisinde egya kiromita 21 bakuyita ku Kabanjagala Road bagatte ku Sentema Road, beyunge ku luguudo lwe Nabulagala badde e Nankulabye. Makerere Road Wandegeya beyunge ku Yusuf Lule Road, Garden City beyunga ku Nakasero Road badde ku Buganda Road bakkirire e wa kisekka ne ku poliisi ya Old Kampala badde ku Martin Road bakkirire mu Kisenyi olwo gyebanaayingirira Olubiri mu gate ya Lubiri High School.
Abanadduka kiromita 10 bakukozesa Kabanjagala Road -masengere okutuuka ku ddwaliro e Lubaga badde ku Lubiri SS, Ppokino Road Kabuusu okutuuka ku nnyanja ya Kabaka badde ku Ring Road era nabo bayingirire mu gate ya Lubiri High School.
Ate aba kiromita 5 baakukozesa oluguudo Kabanjagala Road badde ku kitebe kya Red Cross, nnyanja ya Kabaka betoolole Ring Road okutuuka mu Ndeeba, Katwe era nabo bayingirire mu Gate ya Lubiri High School.
Police mu ngeri yeemu esabye abantu ba Ssabasajja bonna abagenda okuddukira mu bitundu ebyesudde Kampala awatali kulambikibwa kwa police babeere begendereza, era nesaba ab’ebidduka wonna mu ggwanga okuwa abaddusi ekitiibwa.
Omuduumizi wa police y’ebidduka mu Kampala Rogers Kawuma Nsereko asabye bonna abakwatibwako ku nkozesa y’enguudo ezenjawulo, okugoberera amateeka.
Ayogerera police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti police yakukoleganira wamu n’amagye, n’ebitongole ebikessi, okwanganga abamenyi b’amateeka.