
Omuzannyi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’okubaka eya She Cranes, Mary Nuba, mu butongole yegasse ku nkambi ya ttiimu eno eri mu kutendekebwa, nga yetegekera empaka za Commonwealth Games ezigenda okubeera e Birmingham Bungereza okuva nga 28 July okutuuka nga 8 August omwaka guno.
Mary Nuba omupiira ogw’ensimbi agucangira mu club ya Loughborough lightning eya liigi ya babinywera eya Bungereza, eya Vitality Super League.

Mary Nuba atendekebwa ne ttiimu ey’abazannyi 20 eyabagucangira wano mu ggwanga, ku Kamwokya Community Sports Center.
Kakaano captain wa She Cranes Peace
Kakaano captain wa She Cranes Peace Proscovia ezannyira mu club ya Surrey Storms eya Bungereza, yabulayo okwegatta ku ttiimu eno.

She Cranes mu mpaka za Commonwealth Games yatekebwa mu kibinja B, omuli Bungereza, New Zealand, Trinidad and Tobago, Northern Ireland ne Malawi.
Uganda ya kuggulawo ne New Zealand nga 30 omwezi ogujja ogwa July 2022.