
Kkooti enkulu etawulula enkayana eyise omusuubuzi wa Aluminum Shukra Mukesh, yennyonyoleko olw’okulwawo okusasula omubaka Joel Ssenyonyi ensimbi zeyasaasanyiza mu musango gweyamusinga.
Mukesh ayitiddwa alabikeko mu kooti nga 12th omwezi ogujja ogwa July,2022.
Omubaka wa Nakawa West Joel Sennyonyi yategezezzq kooti nti Mukesh ennaku zino yebulankanya tayagala kusasula nsimbi, kkooti zeyamulagira okumuliyirira.
Abalamuzi 3 aba kooti ejulirwamu abakulemberwamu Geofrey Kiryabwire balagira Mukesh okuliyirira Sennyonyi ensimbi zonna zaayonoonedde mu musango gw’ebyokulonda ogwali guloopeddwa Mukesh ngawakanya obuwanguzi bwe.
Okusinziira ku Bannamateeka ba Ssennyonyi, baasaba Mukesh okuliyirira omuntu waabwe obukadde bwa shs 570, wabula nga negyebuli eno omukulu tawangako wadde omunwe gw’ennusu.
Mu Kalulu ka bonna aka 2021, Sennyonyi yalangirirwa nti yeyawangula ekifo ky’omubaka wa parliament ekya Nakawa West n’obululu obusukka mu mitwalo esatu.
Mukesh eyakwata ekyomusanvu mu lwokaano n’obululu 806 kwekuddukira mu kkooti ng’agamba Sennyonyi teyasoma ate yabba n’obululu
Wabula kkooti enkulu nejulirwamu zagoba omusango guno, bwezazuula nti Mukesh teyalina bujulizi ku byeyalu alumiriza era bwezityo kwekumulagira okuliyirira Sennyonyi.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam