
Abantu 4 bafiiridewo mbulaga mu kabenje akagudde mu bitundu by’omugga Katonga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.
Abalala abatanakakasibwa muwendo nabo baddusiddwa mu ddwaliro e Nkozi nga bali mu mbeera mbi.
Babadde batambulira mu mmotoka ya Taxi kika kya Drone namba UBH 295 N, ebadde eva Kampala ng’edda kyotera.
Taxi eyabise omupiira neyefuula emirundi ejiwera, so ng’aberabiddeko ku kabenje nga kagwawo bagamba nti ebadde ku misinde gya yiriyiri.
Esibidde mu kitoogo era abantu abamu babannyuludde mu mazzi.
Police etuuse mu kifo awagudde akabenje abafunye ebisago nebaddusibwa mu ddwaliro e Nkozi okufuna obujanjabi.
Emirambo 4 nagyo gitwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro eryo, okunoonyereza ku kivuddeko akabenje nga bwekugenda mu maaso.